Psalms 135

1 aMutendereze Mukama.

Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 bmmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.

3 cMutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 dKubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.

5 eMmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 f Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 gAlagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.

8 hYe yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 iYe yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 jYe yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 kSikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 lEnsi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.

13 mAyi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 nKubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.

19Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 o Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE